Amawulire

Abasuubuzi ku Nasser beekalakasizza

Ali Mivule

November 6th, 2013

No comments

Nasser road

Oluvanyuma lw’abasuubuzi b’okuluguudo lwa Nasser Road okwekalakaasa amakya galeero, ekitongole kya masanyalaze ekya UMEME kirabuddwa obutalinda nga bantu kwekalakaasa okukola ku nsonga zaabwe.

Adumira poliisi y’omu bukiikakkono bwa   Kampala  Mike Mugabi agamba bbo nga abalondoola obutebenkevu n’ebyokwerinda kibabeerera kizibu okuyingira mu nsonga nga zino eziyinza okuggwa ng’abantu tebeekalakaasizza.

Ono aweze nti poliisi si yakuva mu kifo kino okutuusa nga aba UMEME  bazizzaako amasanyalaze g’ekitundu kino era ga webuzibidde nga bakikoze.

Mu ngeri yeemu omusuubuzi omu ategerekeseko erya  Maureen afunye ebisago abasuubuzi bwebabadde balwanagana ne poliisi bw’akubiddwa essasi mu kugulu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *