Amawulire

Abasuubuzi bémputa bagala ewerebwe okuliibwa mu uganda

Abasuubuzi bémputa bagala ewerebwe okuliibwa mu uganda

Ivan Ssenabulya

October 23rd, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina omwegatira abasuubuzi bebyenyanja ki Uganda Fish Processors and Exporters Association (UFPEA) kyagala mu bbago lye tteeka erikwata ku byenyanja erya Fisheries and Aquaculture bill 2021, eriri mu kwetegerezebwa palamenti mu tekebwemu akawayiro akawera bannauganda okulya emputa basigalire ngege yonna.

Bwabadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti ake byobulimi, obuvubi nóbulunzi, akakulemberwa omubaka omukyala owa Abim District Janet Okori-moe, Ssentebe wé kibiina kino, Sujal Goswami, yasabye palamenti ekkiriza bannauganda bagaanibwe okulya emputa, balye engage emputa etundibwe e bweru.

Ono yanyonyodde nti mu myaka 22 egiyise emputa eri kuntuzi ku katale kensi yonna okusinga engage.

Wabula omubaka wé Bbale County, Charles                    Tebandeke  kino akiwakanyiza nategeeza nti tekisobola bannauganda kubagya ku mputa eva munsi yabwe ate abébweru bagyemiinse.

Ssentebe wákakiiko kano, Janet Okori-moe yasuubiza okwetegereza ekiteeso kino.