Amawulire

Abasuubula ebweru basabiddwa okwetanira yinsuwa za wano

Abasuubula ebweru basabiddwa okwetanira yinsuwa za wano

Ivan Ssenabulya

November 10th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina ekigatta abasuubuzi bómu kamapala ekya Kampala City Traders Association (KACITA) kikwataganye ne kibiina ekitwala kampuni za yinsuwa okusikiriza abasuubuzi okwetanira okukozesa yinsuwa za wano

Kino kidiridde gavt okusaba abasuubuzi ba wano abasuubula emitala wa mayanja okukomya okweyambisa amakampuni ga yinsuwa agabagwira mu byobusuubuzi wabula betanire agawano.

Bwabadde ayogerera mu kulungana lwa basuubula ebweru, akolanga ssentebe wa KCAITA, Thaddeus Musoke, akubiriza abasuubuzi okwetanira yinsuwa za wano kuba nyangu ate zirina obukuumi ku byamaguzi.

Ono agamba nti ekya basuubuzi okwetanira yinsuwa yókumazzi kyakwongera gavt okufuna omusolo oguwera mu kifo kyokuguwa kampuni za bagwira.