Amawulire

Abasumba ba balokole bakwekubira enduulu eri palamenti kujjoogo lya UPRS

Abasumba ba balokole bakwekubira enduulu eri palamenti kujjoogo lya UPRS

Ivan Ssenabulya

November 6th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abasumba babalokole bakuwandikira palamenti ne kitongole ekivunanyizibwa ku kuwandiisa amakampuni nga bemulugunya kungeri ekibiina ekivunanyizibwa ku nnyimba za bayimbi gyekikolamu emirimu.

Bano nga bakulembedwamu Bishop David Kiganda akulira ekibiina omwegatira abasumba ki National Pastors Platform bagamba nti aba UPRS tebalina lukusa kukaka bayimbi kwewandiisa.

Ono awakanyiza nentekateeka yé kibiina kino okulagira abayimbi ba gospel abawandisibwa mu kibiina kino okuyimbira mu kwaya za makanisa gabwe nga tebafunye lukusa gye bali era nga abanakikola bagenda kukangavulwa.

Kiganda agamba nti okuwereza katonda kwawukananyo nokuyimba okwensimbi kale nga aba UPRS tebalina buyinza kulemesa muntu ayagala okuwereza katonda okuyita munnyimba.

Ono era ategezeza nti amawulire gebalina galaga nti ekibiina kya UPRS kirina abayimbi 57 bokka abawandiise ate nga nabo bemulugunya nti tebasasulwa mu kukozesa enyimba zabwe songa ne ku mukutu YouTube kuliko abayimbi abasoba mu 4000 wabula abekibiina kino bagamba nti nabo bebalina obuvunanyizibwa ku nyimba zabwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *