Amawulire

Abasubuzi wansi wa KACITA balaliise okwekalakaasa

Abasubuzi wansi wa KACITA balaliise okwekalakaasa

Ivan Ssenabulya

August 30th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Abasubuzi mu kibuga, wansi wekibiina ekibagatta Kampala city Traders Association balabudde nga bwebagenda okwekalakaasa, nga bawkanya ekyokubabanja ssente zobupangisa, ezemyezi egyemabega mu muggalo.

Bano banenya ba landiloodi, okubataulugunya nokubakanda ssente,atenga baali ku muggalo nga tebakola.

Akolanga ssentebbe wa KACITA, Thaddeus Musoke agambye batekateeka okwekalakaasa mu mirembe nga 1 Sebutemba kubanga bagezezaako okwekubira enduulu eri buli gwekikwatako naye tebayambiddwa.