Amawulire

Abasse omubbi wa boda babakutte

Ali Mivule

May 2nd, 2017

No comments

Bya Mose Kyeyune

E Kamuli, abatuuze ababadde batasalikako musale balumbye abeteberezebwa okuba ababbi ba ppikippiki 2, nebabakuba mizibu nebabaleka nga kibuyaga yakuunta.

Ettemu lino, lyakoleddwa ku byaalo bibiri, okuli akabuga k’ekasambaira mu gombolola ya Bugulumbya e Kamuli, kyoka nga omulala baamulumbye ku kyaalo Bumwena nga kino kisangibwa mu gombolola y’Emalongo e Mayuge.

Kakaano, abattidwa kuliko  Were Peter (23) eyasangiddwa lubona, ng’akukulidde ppiki-ppiki eno, No AEJ 839R eyali yabbibwa  gyebuvudeko, ate nga munne ebimukwatako mpaawo yabitegedde.

Abelabiddeko nagabwe baategezeza Dembe FM, nti mpaawo nduulu kagibe milanga gyalobedde basajja ababade besimbye emitaafu okukola ogwabwe.

Wabula ye addumiira Poliisi mu bitundutundu by’amambuka ga Busoga Kasaadha Michael agamba nti babiri kubano, bakwatiddwa dda era bakusimbibwa mu kooti bawerenembe n’ogwokutta abantu.

Kasaadha agamba nti bano batwaliide amateeka mu ngalo nebatta abantu bebabade bakutte nga balamu mukifo ky’okubatwaala ku poliisi.