Amawulire

Abasajja basse bakazi baabwe ku Ssekukulu e Bugisu

Abasajja basse bakazi baabwe ku Ssekukulu e Bugisu

Ivan Ssenabulya

December 27th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Ekitebbe kya poliisi e Mbale baliko omusajja owemyaka 28 gwebagalidde ku misango gyokutemula mukyla we.

Omukwate ye Lokiru Mariko, ng mutuuze we Namatala mu Industrial division, kigambibwa yasse mukyala we Mary Longole owemyaka 24 bweyamusanze nga yergomba nomusajja omulala munda mu nnyumba ye.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Elgon Rogers Taitika, agambye nti bino byabaddewo ku sekukulu mu budde bwekiro.

Omusajja bweyazudde kino, yakutte ejjambiya nafumita omukazi mu bulago namutematema ku mutwe namutta.

Mungeri yeemu, poliisi mu disitulikiti ye Manafwa ebakanye nomuyiggo ku musajja ategerekeseeko erya Bai ku misango gyokutemula mukyala we.

Bino byabadde mu Bubulo ward, mu tawuni kanso ye Manafwa omugenzi ye Irene Naliba owemyaka 37.

Rogers Taitika, ayogerera poliisi mu Elgon agambye nti omugenzi yakutte ekiti nakikuba mukazi we ku mutwe namutta, nadduka oluvanyma lwokufunamu obutakaanya.

Poliisi egamba nti okunonyereza kugenda mu maaso.