Amawulire

Abasomesa nábayizi ba Univesirty bakusosowazibwa mu kugema Covid

Abasomesa nábayizi ba Univesirty bakusosowazibwa mu kugema Covid

Ivan Ssenabulya

July 29th, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye

Minisita omubeezi owebyenjigiriza ebisokerwako Joyce Kaducu ategezeza nga gavumenti bwegenda okusooka okufa ku kyokugemesa abasomesa nábayizi ba University okwetoloola eggwanga lyonna singa eddagala linaaba lifunise.

Gavumenti essuubira okufuna doozi ze ddagala erigema ekirwadde kya covid 586,000 mu ssabiiti eno

Okusinzira ku Kaducu, abasomesa bonna nábayizi mu matendekero agawaggulu balina okugemebwa nga amasomero teganagulawo.

Ono asabye bannauganda obutakitwala bubi olwokuba abasomesa nábayizi bakkiriziddwa okubeera ku mwanjo okufuna eddagala erigema ekirwadde

Minisita era ategezeza nti balinze mukulembeze weggwanga ayogere olunaku lwenkya, alungamye kuddi amasomero wegagenda okugulawo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *