Amawulire

Abasomesa betaaga obujanjabi bw’obwongo

Abasomesa betaaga obujanjabi bw’obwongo

Ivan Ssenabulya

October 14th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Abakugu mu ndwadde zemitwe nobwongo mu Uganda bawabudde gavumenti, okutuusa obujanjabi bwemitwe eri abasomesa, ngamasomero teganaggulawo.

Gavumenti yalangirira okggulawo amasomero okutandika naba univasite nga 1 Novemba, ateng abasigadde baakutandika mu January womwaka ogujja.

Akulira ekitongole kya Psychosocial Support Initiative nga ye Michael Byamukama abadde wamu ne Joshua Opio okuva ku kitongole kya War Child –Holland nebategeeza nga bwewaliwo obwetaavu okutekateeka abasomesa nga tebanaddayo mu bibiina.

Bano bagamba nti bingi ebibaddewo, ebikosezza abasomesa mu muggalo, kyenkna ogumaze emyaka 2.

Bano basinzidde mu musomo ogwomulundi ogwomukaaga, ogwa Africa Psychosocial Support Forum nga gwetabiddwamu amawanga 13 nga ne Uganda terutumiddwa mwana.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *