Amawulire

Abasoma obwa Dokita batadde wansi ebikola lwa mbeera mwebakolera

Abasoma obwa Dokita batadde wansi ebikola lwa mbeera mwebakolera

Ivan Ssenabulya

November 8th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abasawo abakyali mu kutendekebwa, wansi wekibiina mwebegattira ki Federation of Uganda Medical Interns (FUMI) basazeewo okussa wansi ebikola, okutuusa ng’ekiragiro ky’omukulembeze weggwanga kitereddwa mu nkola.

Ng’ennaku z’omwezi 17 mu May wa 2021, bateeka wansi ebikola nga bbanaja gavumenti okulongoosa embeera mwebakolera nokwongeza ku nsako yabawe eyabuli mwezi.

Kati nga 1 June, omukulembeze weggwanga Yoweri K. Museveni yasisinkana abakulembeze b’abayizi n’abasubiza okwongeza ensako yaabwe okuva ku  mitwalo 75 okutuuka ku bukadde 2 nekitundu nasuubiza n’okuetereeza ebirala byebaali bemulugunyako, wabula byonna tebikolebwanga.

Bwebabadde bogera ne bannamawulire mu Kampala, pulezidenti wékibiina kino Mary Lilian Nabwire, agambye nti byonna byebatukako mu nsisinkano eyo byakomawo era byali byoya byanswa.

Kati kino agambye nti kye kyababagudde okukaanya baddemu okuteeka wansi ebikola okutuusa nga abavunanyizibwa bakoze kunsonga zabwe.