Amawulire

Abasoma obusawo bagenda kugezesebwa olwaleero

Abasoma obusawo bagenda kugezesebwa olwaleero

Ivan Ssenabulya

November 8th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Abasawo abazaliisa bayite ba Nurse oba midwives, abawera omutwalo 1 mu 6,400 abakyali mu kuetndekebwa olwaleero bagenda kutandika ebigezo byabwe ebikomekereza olusoma.

Okusinziira ku kiwandiiko ekyavudde mu kitongole kyebigezo ekya Uganda Nurses and Midwives Examination Board, ebigezo bigenda kutandika olwaleero nga 8 Novemba, byakukomekerzebwa nga 12 Novemba.

Ebigezo bino bigenda kukolebwa mu bifo oba amatendekero 103, okwetoloola egwanga.

Oksuinziira ku ssentebbe owakakiiko kebigezo mu kitongole kino, Mary Achuma, baayungudde abakungu nabakozi baabwe abawerako okukuuma ebigezo bino.

Abakulira amatendekero nebigezo ebigezo mwebigenda okukolerwa, balagiddwa okutekawo ebikozesebwa ebimala okuli sanitizer, amazzi ne sabuuni okusobola okwetangira ssenyiga omukambwe.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *