Amawulire
Abasirikale ba UPDF 2 bafiiridde mu kabenje
Bya Magembe Sabiiti, Abasirikale ba updf 2 bafiiridde mu kabenje emotoka namba UBB 493X Toyota hiance ne bodaboda namba UEC 029T Bajaj boxer.
Akabenje kagudde mu katown ke Kakungube Trading centre mu gombolola ye Nalutuntu e Kassanda ku luguuddo oluva e Mubende-Mityana.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu by’ewamala Norbert Ochom ategezeeza nti abagenzi okuliko L/CPL Ogwanga Simon Peter ne SGT Luka Opira ababadde babeera ku kambi ye Mubende.
Ochom anyonyodde nti ababiri bano batomedwa emotoka ya taxi eyabadde ewenyuuka obuweewo nga bbo batambulira ku bodaboda
Emirambo gyabwe giri mu ggwanika ku ddwaliro e mubende
Omugoba wemotoka eyakoze akabenje yadduse wabula poliisi emuwenja busenene.