Amawulire
Abasiraamu bambalidde bakristaayo olwa banka
Bya Ben Jumbe, Ndaye Moses, Malikh Fahad, Gertrued Mutyaba ne Juliet Nalwoga
Jajja wobusiraamu omulangira Kassim Nakibinge ayambalidde poliisi, olwobumnyi bwamateeka obweyongedde.
Bino abyesigamaizza ku bazigu abalumbye, edduuka lyebizmbisibwa e Nansana misana ttuku, nebatta abantu 3 nebabba nensimbi enkalu.
Agambye batekeddwa okukola ennyo okukuuma abantu.
Wano ayambalidde abenzikiriza eyekristaayo wansi wa Uganda Joint Christian Council, abavuddeyo okuwakanya banka yekisiraamu.
Palamenti kinnajukirwa gyebuvuddeko yayisa etteeka lya Islamic banking Act, bano basaba gavumenmti esooke yekennenye bulungi entekateeka eno, bajira balindako okulitekesa mu nkola.
Bano baabadde bebuuza ekigendererwa kya banka, eno kubanga terubiridde kukola magoba.
Obuibaka bwebumu bubadde neku kasozi Kampala Mukadde.
Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramadhan Mubajje asinzidde mu kusaala Eid, ku muzikiti omukulu ku Kasozi Kampala Mukadde, nagamba nti ediini tebakiriza kujja magoba ku ssente.
Shikh Abdalla Ssembambo ye mumyuka wa Mufti, yavunudde obubaka buno.
Ate supreme Mufti Sheik Sulimani Ndirangwa alaze okutya olwebikolwa ebyobutemu ebyeyongedde mu gwanga.
Ono yakulembeddemu okusaala e Kibuli, wabula asabye abasiraamu, nti buvunayzibwa bwabwe okusabira egwanga litebenkere.
Ayogedde ku bikolwa ebirala ng’okulwanagana okutakoma, enguzi nebiralala ebikosa abantu.
Akolanga Amir waba-Tabliq gwebakayimbula, ku kakalu okuva mu kkomera, Sheikh Yahaya Ramadan Mwanje asabye abasiraamu bave mu njawukana wabeewo obumu.
Agambye nti entaloezitaggwa mu bakulembeze babsiraamu, zikosezza nnyo abagoberezi.
Sheikh Yahaya abadde mu kusaala Eid ku sosmero lya Nakivubo Blue P/S.
Kati alabudde neku kugenda mu bibyumu oluvanyuma lwokusaala.
Ate district Khadi w’e Masaka Sheikh Swaibu Ndugga asinzidde ku muzigiti omukulu e Masaka mu kusaala Eid neyennyamira olwebikolobero ebigenda mu maaso mu gwanga.
Abamu ku betaby mu kusaala kuno kubaddeko meeya wa munispaali ye Masaka Godfrey Kayemba Afaayo nomubaka Masaka Mathias Mpuuga.
Kati banadiini bano era basabye nti wabeewo emirembe wakati wa Uganda ne muliraanwa waayo Rwanda.
Sheik Twaha Bugembe asabye abakulembeze bamwanga gombi, okugonjoola obutakanya obuliwo, obunkenke bukome.