Amawulire
Abasiraamu bakubirizidwa okuyingira eby’obufuzi
Bya Tobbias Jolly Owiny, Yahudu Kitunzi, Fred Wabede, ne Malik Fahad
Okuva mu bitundu bya acholi Sheik Musa Kelil alaze obwenyamivu olwa bakulembeze bobusiraamu mu kitundu kino okulemererwa okulwanirira obusiraamu
bino bibadde mu bubaka bwe obwa okusaala idi aduha ku kisaawe ky’esomero lya Gulu primary school , nategeeza nti obusiraamu bugenda busereba olwa babulimu okulemererwa okuwaayo ensimbi zaabwe okubuwagira.
Ono agamba nti mu kiseera kino ekitebe kyobusiraamu mu bitundu bye acholi kitudde ku yiika zettaka biri ekilemeseza enkulakulana okutukibwako.
Mungeri yemu akubiriza abasiraamu okukomya omwoyo gwobwa sseruganda wakati mu kujaguza idi yomulndi guno.
Ate e butalejjja, disitulikiti kaadio waayo Sheikh Swaibu Mukama naye akubiriza abayisiraamu okuba obumu nokukolerera emirembe.
Ye omubaka omukyala owekitundu kino Milly Mugeni yekokodde enkayana zettaka ez’eyongedde enyo ekivirideko nabamu okufiirwa obulamu.
E mbale, abayisiraamu bakubirizidwa okwenyigira mu byobufuzi mu kulonda kwa bonna okubindabinda basobole okulwanirira ensonga zaabwe.
Bino byogeddwa disitulikiti kaadi we Tororo Sheik Ibrahim Asante Ragang,mu kusaala iddi .
Ono mungeri yemu alabudde abakyala okukomya okugenda mu ndagu kuba teri kalungi kavaayo era nabakuutira okubeera abesigwa eri abagalwa baabwe.
Ye Sheikh, Twaha Bugembe okuva e masaka ayagala bannaddiini babeere n’ababakikirira mu palamenti ate baweebwe ne bifo ebirala ebyobukulembeze.
Ono agamba nti ensonga zaabwe tezirina azituusa mu palamenti bwatyo nasaba gavumenti ekirowoozeko
Ate ye disitulikiti kaadi we masaka Sheik Swaibu Ndugga,akubiriza abasiraamu okubeera obumu nokujumbira okuwa zaka abanaku basobole okufuna obuyambi.