Amawulire

Abasikawuti basindikiddwa e Tororo okulawuna mu masomero ku kwekalakasa kwábasomesa

Abasikawuti basindikiddwa e Tororo okulawuna mu masomero ku kwekalakasa kwábasomesa

Ivan Ssenabulya

June 27th, 2022

No comments

Bya Joseph Omollo,

Abóbuyinza mu disitulikiti eyé Tororo basindise abasikawutu mu masomero ga gavt gonna okulondoola okulaba abatali mu bibiina

Bino birangiriddwa akulira abakozi mu disitulikiti eno, Dunstan Balaba, agamba nti kino bakikoze okutukiriza ekiragiro ekyava mu minisitule evunanyizibwa ku bakozi ba gavt ekyalagira abasomesa bonna abali mu kwekalakasa okudda mu bibiina basomesa abayizi okutandika nga June 24, 2022.

Minisitule yategeeza nti abatakikola bakutwalibwa nti balekulidde emirimu gyabwe era bakugibwa ku lukalala okusasulibwa abakozi ba gavt.

Balaba anyonyodde nti yafeesiye esindise abasikawutu mu masomero ga gavt 163 agali mu disitulikiti okukakasa nti abasomesa gye bali era bakuwandiisa abo bokka bebanasangayo abataaliyo lisiti bagiweereze gavt ekkole okusalawo.

Mu kwogerako ne bannamawulire, yenyamidde okulaba nti mu masomero agamu abayizi balagibwa okudda eka amasomero ne bagaggala.

Asabye abazadde okukomyawo abaana ku masomero era nalabula nti teri muntu yenna alina lukusa okuggala essomero lya gavt.