Amawulire

Abasibe 4 bafiridde mu kkomera

Abasibe 4 bafiridde mu kkomera

Ivan Ssenabulya

December 8th, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Abasibe 4 okuva mu kkomera lye Kakondo mu disitulikiti ye Lyantonde bafiridde mu kabenje, abalala 8 nebabuuka nebisago.

Akabenje kano kabaddi ku kyalo Kiterede mu gombolola ye Malango mu disitulikiti ye Lwengo.

Abasibe bano babadde mu mmotoka kika kya Toyota Saloon nnamba UBF472/K nga tekinategerekeka wa gyebabadde balaga.

Okusinziira kuberabiddeko ngakebenje kano kagwawo, nabamu ku bakuumi bekitongole kyamakomera nomugoba wemmotoka eno, balumiziddwa era babadusizza mu mu ddwaliro e Lyantonde gyebawereddwa ebitanda.

Okusinziira ku omu ku bakuumi babadde mu mmotoka eno, omu ku basibe abuse nayagala okuwamba omugoba wemotoka agivuge, ekivuddeko akabenje.

Omwogezi wekitongole kyamakomera Frank Baine akakasizza akabenke kano.