Amawulire

Abasibe 2 batolose mu kadukulu e Kyengera

Abasibe 2 batolose mu kadukulu e Kyengera

Ivan Ssenabulya

October 18th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi mu disitulikiti ye Wakiso ebakanye nomuyiggo ku basibe 2, abatolose mu kaddukulu ku poliisi ye Kyengera.

Bano baayise, mu baati nebadduka, nga kati tebamanyikiddwako mayitire.Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirirwano Luke Owoyesigyire, agambye nti bano baali bakwatibwa ku misango gya bubbi.

Kati agambye nti abakuumi, ababaddewo bakwatiddwa bayambeko mu kunonyereza.

Wabadde wakayita essaawa mbale, abasibe bwebagezezaako okutoloka mu kaddukulu ku poliisi y’Entebbe.