Amawulire

Abasibe 10,000 ku 6,000 bebakagemebwa COVID-19

Abasibe 10,000 ku 6,000 bebakagemebwa COVID-19

Ivan Ssenabulya

October 20th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Ekitongole kyamakomera kyakagema abasibe omutwalo gumu, ekirwadde kya ssenyiga omukambwe ku basibe emitwalo 6 abali mu makomera.

Omwogezi wekitongole Frank Baine agambye nti omuwendo gwabakagemebwa guli wansi, nga kivudde ku ddagala etono eryakabaweebwa okuva mu minisitule yebyobulamu.

Baine era agambye nti tewali musibe yamazeeyo doozi eyokubiri, bonna bakafunako doozi esooka.

Baine agambye nti abasibe akadde bebali ku mwanjo, bebalubiridde okugema.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *