Amawulire

Abasawo e Lyantonde beedimye

Ali Mivule

May 2nd, 2014

No comments

workers demonstrate

Abasawo ku ddwaliro e Lyantonde bassizza wansi ebikola.

Bano bawakanya okukwatibwa kwa musawo munaabwe Gorreti Nansubuga eyagaanye okukola ku mulwadde eyasindikiddwa RDC Sulaiman Matojo wabula n’amulagira okusimba ku lukalala.

Abasawo bano bagamba nti musawo munaabwe talina musango kubanga buli muntu alina okusimba mu layini .

Bano nno bawagiddwa n’akulira eddwaliro Julius Mwanjini agamba nti omusawo waabwe teyakoze musango gwonna.

Akulira ebyobulamu ku disitulikiti,Okoth Obo naye akwataganye n’abasawo kyokka n’ategeeza ng’olukiiko olwamangu bwerugenda okuyitibwa okumalawo okusika omuguwa.

Yye RDC Sulaiman Matojo tafunise kubaako ky’ayogera ku nsonga eno.