Amawulire

Abasawo basazizamu akediimo kaabwe

Ali Mivule

April 5th, 2017

No comments

 

Bya Ritah Kemigisa

Abasoma obusawo ku ddwaliro ekkulu e Mulago kyaddaaki basazizzamu akediimo kaabwe .

Mukiseera kino emirimu gitambulira ddala bulungi ku ddwaliro ekkulu e Mulago nga era nenyirira zikendeddeko.

 

Okuva ku lwokutaano lwa ssbbiiti ewedde bano babadde batadde wansi ebikola nga babanaja ensako yaabwe ebadde yafuuka ganyana era baabadde bewera nti teri kudda ku mirimu okutuusa nga bafunye akaabwe.

 

Kati akulira ekibiina ky’abasoma obusawo nga bali mu kutendekebwa e Mulago, Fauz Kavuma agamba babasasuddeko ensako ya myezi 2 kwejo 3 gyebabanja .

Agamba bawandikidde minisitule y’eby’obulamu okumalayo ssente zaabwe nga era bazisuubira mu mwezi gumu gwokka.

 

Abasawo bano bateeka wansi ebikola nga balumiriza aba minisitule y’eby’obulamu okubajooga nebagaana okubasaula emitwalo gyabwe enkaaga zabalina okufuna buli mwezi.