Amawulire

Abasala abawala mu mbugo bakyusizza mu nkola

Ali Mivule

May 5th, 2017

No comments

Bya Steven Ariong

Oluvanyuma lwa gavumenti okwongera okutabukira abakechula abawala mu mbugo, mu disitulikiti ya Amudat abasala abaana bano ab’obuwala kati bazze nankuba mpya kuwudiisa ab’obuyinza.

Mu bitundu bye Karamoja bano kati bakyusizza emyezi mwebasalira abawala okuva ku gimanyiddwa .

Kansala w’abakyala mu disitulikiti Docus Chelain y’ayasanguzza kino n’ategeeza nti okusala abawala mu mbugo kulina kubeerawo mu August wabula nga kati bategese December kubanga abasing ebirowoozo biba ku ssekukulu.

Abasinga okusala abawala bebasebei n’abo abava e Kapchorwa, Kween ne  Bukwo.