Amawulire

Abasajja babiri bafiridde mu kirombe

Abasajja babiri bafiridde mu kirombe

Ivan Ssenabulya

March 31st, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Abantu babiri bafiridde mu kirombe kyomusenyu mu disitulikiti ye Kabale, bwekiguddemu nekibabutuikira.

Abagenzi kuliko Ediwin Nuwagaba, owemyaka 30 ngabadde mutuuze ku kyalo Nyakyonga ne Simon Arinitwe owemyaka 24 nga nga naye mutuuze ku kyalo Rukaranga.

Omwogezi wa poliisi wa poliisi mu kitundu Kigezi, Elly Maate agabye nti enjega eno yabaddewo ku ssaawa 1 eyokumaliiri ngokuzuula nti bafirirdde mu kirombe, banaabwe bagenze okutuuka webakolera nga waliwo masaati gaabwe nga bbo tebaliiwo.

Kati poliisi ejjeeyo emirambo, nga nokunonyereza kutandise.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *