Amawulire

Abantu balabuddwa kuba Money lender abatali bawandiise

Abantu balabuddwa kuba Money lender abatali bawandiise

Ivan Ssenabulya

August 30th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Ekitongole ekirungamya emirimu gyebibiina byobwegassi, Uganda Microfinance Regulatory Authority balaze okutya ku bitongole nabantu ssekinoomu ebyeyongedde, abawola ssente abakazibwakoo eryaba money lenders.

Abasing ku bano, bagamba nti ssi bawandiise era bakolera wabweru wamateeka.

Bwabadde ayogerako naffe, akulira ekitongole kino Peter Emong agambye nti abasing bakozesezza omukisa gwembeera yebyenfuna enzibu abantu gyebalimu, olwa ssenyiga omukambwe, okuwola nokutwala ebintu byabantu.

Alangiridde nti bali mu ntekateeka, okukola ebikwekweto ku bonna abakolera wabweru wamateeka.

Kino agambye nti kigendereddwamu okuteeka mu nkola etteeka lyabegassi, eryomwaka 2016.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *