Amawulire

Abantu akakadde 1 bebakoseddwa mu mataba

Abantu akakadde 1 bebakoseddwa mu mataba

Ivan Ssenabulya

October 19th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Abantu akakadde kalamba bebakoseddwa mu mataba agagoyezza ebitundu byegwanga ebyenjawulo.

Amasomero mangi, enguudo, entindo, amalwaliro nebiralala byonna bikubiddwa nebisgala ku ttaka.

Bwabadde ayogera ne bannamwulire ku Media Center, mu Kampala minisita omubeezi owebigwa tebiraze mu wofiisi ya Ssabaminisita wegwanga Esther Anyakun anokoddeyo ebitundu ebisinze okukosebwa okuli disitulikiti ye Kasese, Kayunga, Nakasongola, Ntoroko nendala mu kitundu kya Elgon ngeno agambye nti gwajabagidde.

Agambye nti abantu akakadde kalamba bebetegudde amaka gabwe, kati bewogomye mu bitundu ebirala.

Wabula agambye nti gavumenti etandise okubaga ku ntekateeka yokusyamba abantu, ejja okugobererwa mu gwanga lyonna eri abagudde ku bibamba.