Amawulire

Abantu 7 bebakafiira mu kabenje K’eNakasongola

Abantu 7 bebakafiira mu kabenje K’eNakasongola

Ivan Ssenabulya

September 11th, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa ne Juliet Nalwoga

Omuwendo gw’abantu abafiridde ku kabenje akagudde mu district ye Nakasongola, gulinnye okuva ku bantu 5 okutuuka ku bantu 7.

Abantu 5 bebafiriddewo mbulaga mu kabenje kano, atenga tutegezeddwa nti waliwo nabalala 2 abafiridde mu ddwaliro.

Omwogezi wa poliisi yebidduka Charles Sebabulinde agambye nti akabenje kano kabaddemu bus etomereganye ne mmotoka endala ennettissi, nga kagudde ku luguudooluva e Kampala okudda e Kampala.

Abalumiziddwa bali mu malwaliro okuli erya Nakasongola ne Lacor gyebafunira obujanjabi.

Akabenje kano poliisi ekatadde ku kuvugisa kimama.

Mungeri yeemu abasirikale ba poliisi yoku nguudo mu kitundu kya Kampala nemiriraano, babazizaayo okubbanagula ku nkola yemirmu gyabwe.

Kino kidiridde obubenje okweyongera ku nguudo, nemufiramu nabantu abawera, mu kabnga akayise.

Okusinga essira balitadde kungeri y’okutasaamu abantu, n’okuwa obujanjabi obusooka, ng’entekateeka eyawomeddwamu omutwe aba Redcross.

Omuddumizi wa poliisi y’ebidduka mu Kampala n’emiriraano Normam Musinga agambye nti obubenje obumu era obubaawo bubeera busobokera ddala okwewalika.

Omusomo guno gwa lunnaku lumu, nga guli ku ttendekero e Kololo.