Amawulire
Abantu 4 nga banju emu bakubidwa ekisenge ne bafa
Bya Nalwoga Juliet
Abantu 4 okuva mu nju emu baserengese ezirakumwa n’omulala omu akyabuze oluvanyuma lw’ekisenge ky’amuliraanwa okugwa olw’enkuba ekedde okufuddemba.
Bino bibadde seguku ku luguddo lw’entebbe, kigambibwa nti ekisenge kye kisakaate kigudde kunju ya Sheikh Adinan Mujiraneza ekivirideko okufa kw’amukaziwe n’abaanabe 3
Enjege eno w’egwiridewo kigambibwa nti semaka abadde agenze kusaala agenze okudda asanze badukirize.
Okusinzira ku mwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango emirambo gy’abagenzi gitwaliddwa mu ddwaliro e mulago nga n’omuyigo ku muntu omulala abulidde mu gafunfugu bwegugenda mu maaso.