Amawulire

Abantu 3 bebafiridde mu kabenje ke Mpambire

Abantu 3 bebafiridde mu kabenje ke Mpambire

Ivan Ssenabulya

August 5th, 2019

No comments

Bya Sadat Mbogo

Abantu 3 beebafiridde mu kabenje e Mpambire ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka mu district y’e Mpigi.

Abeerabiddeko bategeezezza ngaakabenje kano bwekavudde ku mmotoka ebadde yeetisse omusenyu kika kya Forward eremeredde omugoba waayo, neyambalira owa bodaboda ebadde ategeerekese nga Kasule n’abasaabaze babiri baabadde atisse nebalusuulamu akaba.

Kitegezeddwa nti omugoba w’emmotoka ekoze akabenje amazeemu omusubi.

Omuddumizi wa poliisi mu district ye Mpigi, Joab Wabwire annyonnyodde nti omugoba ono ayiggibwa era waakuvunaanibwa okuvugisa ekimama n’atta abantu.

Emmotoka n’epikipiki poliisi ebisseewo nebitwalibwa ku kitebe kya poliisi e Mpigi at’emirambo jitwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Gombe okwongera okwekebejjebwa, nga nokunonyereza kugenda mu maaso.