Amawulire

Abantu 3 batiddwa e Lyantonde

Abantu 3 batiddwa e Lyantonde

Ivan Ssenabulya

September 6th, 2019

No comments

Bya Malikh Fahad

Poliisi mu district ye Lyantonde etandise okunonyereza kungeri abantu 3 gyebakubiddwamu masasi agabasse.

Bino bibadde ku kyalo Nakasozi mu gombolola ye Kinuka, abazigu abatanaba kutegerekak bwebalumbye abantu bano nebabakuba amasasi agabatiddewo.

Abagenzi kuliko Ssendege Justus ne mukyala we Evly Naleba nomulala ategerekeseeko erya Robert Mubiru.

Obulumganayi buno bukoleddwa mu kiro ekikesezza olwaleero bwebabadde munda mu nnyumba nga balaba TV.

Omwogezi wa poliisi mu district ezobwagagavu bwe Masaka Paul Kangave akakasizza ettemu lino, ngagambye nti okunonyereza kutandise.

Kati twgeddeko ne Robert Luyimba mulirwana wabantu bano.

Bino webijidde nga waliwo bannansi ba Rwanda 2 abakubiddwa amasasi agabatiddewo amakya ga leero.

Obutemu buno bubadde ku luguudo lwa Entebbe expressway highway, Omumbejja Kamikazi, ngatiddwa nágambibwa okubeera omukuumi we Joshua Ntereho Ruhegyera wali e Katabi.