Amawulire

Abantu 270 abakosebwa amataba e Kasese betaaga buyambi

Abantu 270 abakosebwa amataba e Kasese betaaga buyambi

Ivan Ssenabulya

September 7th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Nnamutikwa wenkuba eyafudemba ku lwokutano lwa ssabiiti ewedde mu disitulikiti eyé Kasese yaleka ayononye amaka ga bantu 45 ekyavako abantu nga 270 okusigala nga tebalina we begeka luba.

Bino bifulumizidwa ekitongole kya Redcross wamu nákakiiko ka disitulikiti akavunanyizibwa ku kulwanyisa ebibamba.

Omwogezi wa Redcross, Irene Nakasiita agamba nti abatuuze abasinze okukosebwa be bawngalira ku byalo Karusandara ne Kanyengeya ebyalumbidwa amataba oluvanyuma lwomugga Nyamwamba okujula ne gubooga .

Abakosebwa mu kiseera kino babudamizidwa ku ssomero lya Kanyengeya Primary School.

Nakasiita alaze obwetaavu obwokudukirira abakosebwa mu bwangu ne byokwebikka, ebyokulya, amazzi ne birala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *