Amawulire

Abantu 2 bafiridde mu kabenje e Njeru

Abantu 2 bafiridde mu kabenje e Njeru

Ivan Ssenabulya

January 24th, 2022

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Abantu 2 bakakasiddwa nti bebafiridde mu kabenje akagudde mu munisipaali ye Njeru mu disitulikiti ye Buikwe.

Akabenje kano kagudde Lugalambo mu divizoni ye Najjembe ku luguudo oluva e Jinja okudda e Kampala.

Mmotoka kika kya lukululana nnamba UBJ 0301/UAY 699B ebadde ekubyeko ssementi etomereganye nendala.

Kigambibwa nti kivudde ku mugoba wemmotoka eno alemereddwa okulaba, olwenfuufu ebadde ezikuuse mu kitundu ekyo.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Ssezibwa Hellen Butoto agambye nti etomereganye nedala ebaddeko nnamba ye Kenya.

Abafudde kuliko Juma Sande ne Omondi Ogolo ngono yabadde omuyambi we, nga bafiriddewo mbulaga.

Emirambo gitwaliddwa mu gwanika lye ddwaliro ekkulu e Kawolo okwongera okwekebejebwa.