Amawulire

Abantu 2 bafiiridde mu kabenje e Bugiri

Abantu 2 bafiiridde mu kabenje e Bugiri

Ivan Ssenabulya

September 2nd, 2021

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Abantu 2 bakakasiddwa okuba nga bafiiridde mu kabenje ke motoka e Bugiri.

Akabenje kano kagudde mu katawuni ke Naluwerere mu kibuga kye Bugiri kuluguudo oluva e Bugiri-Tororo.

Abdu Kasira eyerabiddeko nga akabenje kano kagwawo agambye nti akabenje kavudde ku bafudde ababiri ababadde batambulira ku pikipiki namba UAY 628K okugezako okuyisa tuleela ebadde edda e Tororo ate nga mu maaso gabwe wabadeyo Fuso

Omu kubagenzi ategerekese nga Bosco Ssebya omutuuze we Wakiso.

Akolanga addumira poliisi ye Bugiri Darious Elyemu akakasiza akabenje kano.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *