Amawulire

Abantu 12 bebalumiziddwa mu muliro ku VIvo Energy

Abantu 12 bebalumiziddwa mu muliro ku VIvo Energy

Ivan Ssenabulya

February 3rd, 2022

No comments

Kampuni yamafuta, Vivo Energy Uganda ekakasizza omuliro nokubwatuka okwabaddewo akawungeezi akyise ku Depo yaabwe esangibwa ku mu Kampala.

Mu njega eno abanti 12 bebalumiziddwa nga tebanakakasa muntu yenna eyafudde.

Poliisi yategezezza nga bwekyanonyereza okuzuula ekyavuddeko omuliro guno, ogwaleseewo akassatiro mu bantu ku Dipo eno ne kamuni ezetolodde ekifo kino.

Omwogezi wa Vivo Energy Uganda, Valery Okecho agambye nti abakozi 11 bebalumiziddwa nomutembeeyi abadde akolera ku mabbali goluguudo.

Abalumiziddwa baawereddwa ebitanda ku ddwaliro lya International Hospital Kampala, gyebafunira obujanjabi.

Vivo Energy kampuni etunda amafuta n’ebintu bya Shell.