Amawulire

Abanoonyi bobubudamu abaava e Burundi 2,300 bagenda kuddayo

Abanoonyi bobubudamu abaava e Burundi 2,300 bagenda kuddayo

Ivan Ssenabulya

October 11th, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Abanoonyi b’obubudamu, bannansi ba Burundi 2,300 abali mu Uganda bagala kuddayo okwabwe.

Baao basabye gavumenti kuno, bagamba oluvanyuma lwokufuna obukakafu nti bakubeera bulungi mu gavumenti empya efuga mu gwanga lyabwe.

Omukwanaganya wemirimu gyabanoonyi bobubudamu mu wofiisi ya Ssabaminista wegwanga Godfrey Byaruhanga yasinzidde ku mukolo kwebasibuliidde emponzi 300 nagamba nti okusaba kwabantu bano kwatunuddwamu era entekateeka etandise okubazaayo.

Ono agambye nti bannansi ba Burundi emitwalo 5 bebali mu nkambi zabanoonyi bobubudamu mu bitundu byegwanga ebyenjawulo wabula 2,300 balaze obwagazi okuddayo ewabwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *