Amawulire

Abanonyereza batadde Gavt kunninga

Abanonyereza batadde Gavt kunninga

Ivan Ssenabulya

April 23rd, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Abanonyereza kuttendekero e Makerere batadde gavumenti kunninga okuteekawo pulogulamu mu byenjigiriza eneyamba eggwanga lya Batwa abasangibwa mu maserengeta geggwanga ngobalamiriza odda mu bugwanjuba.

Bano okuyita mu pulogulamu gyebatumye Building Inclusive Learning Environment-BILE PROJECT bagamba nti gavt yandifuna obuzibu okugusa ekirubirirwa kyayo ekyokukomya obwavu nokulaba nti abaana bonna bafuna ebyenjigiriza ebiri ku mutindo singa eggwanga lya Batwa linasigala mu bwavu nobutasoma.

Akulidemu okunonyereza ku pulogulamu eno Dr. Genza Gyavira Musoke, agambye nti balubirira kulaba nti eggwanga lya Batwa lirowoozebwako mu byenjigiriza bye ggwanga ebyawamu.

Ate ye Hajarah Nabukenya okuva mu kitongole kyebyobuwangwa namaka mu minisitule eye kikula kya bantu, yeyamye okuwagira abanonyereza basobole okugusa ensonga zabwe.