Amawulire
Abamawulire nabo bakugemebwa ssenyiga omukambwe
Bya Ivan Ssenabulya
Bannamawulire nabo bagenda kutekebwa ku mwanjo ku bantu abalina okugemebwa ekirwadde kya ssenyiga omukambwe COVID-19.
Kino kikakasiddwa omuwandiisi owenakalakalira mu minisitule ybyobulamu Dr. Diana Atwine, ngayise ku twitter nagamba nti nabamwulire babatwala ngabalwanyi, abamu ku bakumberamu.
Wabaddewo owkemulugunya ku nsonga eno, ku ntekateeka yokugema egenada okutandika, wabulanga bannamulire bababdde bagenda kulekebwa ebbali mu mwetoloolo ogusooka.
Bino webijidde ngabekibiina ekigatta banannyini mukutu gyamwulire okuyita mu ssentebbe waabwe Kin Karis, bababadde baliko ebbaluwa gyebawandiise nga 24 Febwali eri ssabaminista we gwanga, nga nabo bemulugunya ku nsonga yeemu.
Bano basabye gavumenti eteeke banamwulire ku bibinja byabanatu, abegenda okusooka okugemebwa okuli abasawo, abasomesa, abakadde nabalala.