Amawulire

Abamagye 2 bafiridde mu kabenje e Jinja

Abamagye 2 bafiridde mu kabenje e Jinja

Ivan Ssenabulya

January 29th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi ya Corner Junction ku luguudo oluva e Malaba okudda e Jinja mu disitulikiti ye Tororo, banonyereza ku kabenje dekabusa akafiriddemu abajaasi begye lyegwanga erya UPDF 2.

Abagenzi ebibakwatako tebinategerekeka, wabula emirambo gyabwe gitwaliddwa ku gwanika lye Ubonji okwongera okwekebejebwa.

Faridah Nampima omwogezi wa poliisi yebidduka mu gwanga, agambye nti mmotoka kika kya lukululana, nnamba KCB 973X/ZD 5045 eyambalaganye ne kabangali kika kya Toyota Hilux eya URA namba UBA 948/S.

Akabenje kano kabaddewo ngobudde bukya, kigambibwa nti nti mmotoka zombi zibadde ziwenyuka emisinde gya kaweewo.

Omugoba wa lukululana, yeyokyezza ensiko oluvanyuma lwakabenje kano.