Amawulire
Ab’amabbaala e Mukono baddukidde wa RDC
Bya Ivan Ssenabulya
Abaddukanya business mu disitulikiti y’e Mukono baddukidde ewomubaka wa gavumenti Fatuma Ndisaba nga bemulugunya ku mbeera eyobutakola gyebalimu.
Bamusabye atuuse ensonga zaabwe ewomukulembeze we gwanga, bagamba nti abaana baabwe bagenda kuddamu okusoma naye tebamanyi webatandikira kubanga bbadde tebakola, atenga tewali ssuubi lyokubaggula.
Bano banyonyodde okusomozebwa kwabwe eri olukiiko lw’ebyokwerinda olubadde lukulembeddwa RDC Ndisaba.
Kati RDC Ndisaba ategeezezza nti talin lukusa okugulawo amabaala, naye obuyinza bwamukulembeze we gwanga kubanga yeyagalwo ebifo ebisanyukirwamu.
Wabula abasubizza nti agenda kutuusa ensonga zaabwe ewomukulu.