Amawulire

Abalwanirizi b’eddembe batukiza omulanga nga bawakanya ekibonerezo kya Kalabba

Abalwanirizi b’eddembe batukiza omulanga nga bawakanya ekibonerezo kya Kalabba

Ivan Ssenabulya

October 6th, 2022

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Nga amawanga gateekateeka okukuza olunaku lw’ensi yonna oluwakanya ekibonerezo ekyokuwanika abantu kukalabba, abalwanirizi w’eddembe ly’obuntu okuva mu buvanjuba bwa Afrika basabye ebibonerezo by’okufa bigibwewo mu mawanga gyebikyakola

Bwabadde ayogera mu lukiiko lw’omukago gwa East Africa ogulwanyisa ekibonerezo ky’okufa, Dr Livingstone Ssewanyana, akulira ekibiina kyobwannakyewa ki Foundation for Human Rights Initiative, agamba nti ebikolobero bikyali bingi mu mawanga agakuuma ekibonerezo ky’okufa.

Agamba nti ekigendererwa ekikulu eky’ekibonerezo ky’okufa kyali kya kuziyiza misango gya kufa mu mawanga, kyokka etteeka terikola kigendererwa kyalyo, n’olwekyo lirina okuggyibwawo.

Asabye ebibonerezo ebirala biweebwe abantu abaziza egyannagomola okusinga okubawanika ku kalabba.

Okusinziira ku Ssewanyana, Uganda erina abantu 124 abakyali ku kibonerezo ky’okufa nga balindirira kuttibwa.

Ate ye Dayirekita akulira ebyokunonyereza mu kakiiko ka Kenya National Commission for human rights, Anne Okutoyi, agamba nti abantu 600 e Kenya baweebwa ekibonerezo ky’okufa kyokka nabuli kati tebamanyi ddi webagenda okuttibwa.

Ate mu Democratic republic of Congo, abantu 380 baasalibbwa ekibonerezo ky’okufa, ate Tanzania yalina abantu 200 abasonyiyibwa eyali pulezidenti.