Amawulire

Abalwanirira eddmebe ly’abaana sibamativu

Ali Mivule

September 2nd, 2014

No comments

Child in slum

Abalwanirira eddembe ly’abaana mu ggwanga baagala ebibonerezo ebikakali bibinikibwe kwaabo abasingisibwa ogw’okukukusa abaana.

Omulanga guno wegujidde nga abaana abakukusibwa okutwalibwa mu mawanga amalala beyongera buli lukya era gweralikiriza.

Akulira ekibiina ekirwanirira eddembe ly’abaana ekya  ANPPCAN Uganda chapter, Anslem Wandega, ategezezza nga omwaka oguwedde kitundu ku bantu  408 abaakukusibwa okutwalibwa ebweru w’eggwanga bwebaali abaana.

Agamba ekizibu ky’okukukusa abaana bwekiri ekinene okusinga nga abantu bwebakilowooza nga kale okukukusa abantu kufuuse buddu obw’omulembe guno, egimu ku misango kati ejiri ku mwanjo munsi yonna.

Etteeka ly’okukukusa abantu erya  2009 lyateekawo ekibonerezo kyakusibwa emyaka egitasukka myaka 15 eri gwegusinze.