Amawulire

Abalwadde ba COVID-19 abappya 22 bebafunise

Abalwadde ba COVID-19 abappya 22 bebafunise

Ivan Ssenabulya

October 20th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Minisitule yebyobulamu efunye abalwadde ba ssenyiga omukambwe abappya, abakyasinze okubeera abatono okuva omuggalo gwa ssenyiga omukambwe gutagululwa.

Ekitongole ekivunanyizibwa ku kutegekera egwanga ekya National Planning Authority, baalagula nti abalwadde aba buli lunnaku baakukendeera mu wiiki 2 ezijja.

Minisitule yafunye abalwadde 22 atenga abantu 2 bebafudde.

Abalwadde abappya baavudde mu kukebera okwakolebwa nga 17 Okitobba 2021 nga ku lunnaku lwerumu egwanga lyabadde nabalwadde ku bitanda 298.

Uganda okuva mu March wa 2020, awamu yakafuna abalwadde emitwalo 12 mu 5,000, abantu abali mu 3,000 bebafudde atanga abasoba mu mitwalo 9 mu 6,000 bebawonye.