Amawulire

Abalimi balabuddwa obutesigulira ku nkuba etonya.

Abalimi balabuddwa obutesigulira ku nkuba etonya.

Ivan Ssenabulya

January 23rd, 2019

No comments

Bya Juliet Nalwoga.

Ekitongole ekikola ku ntebereza y’obudde kisabye bannayuganda abalimi okusimba ebibala ebikula amangu, kubanga kakano enkuba etonya tegwana kwesiga.

Kuno okuwabula kukoleddwa kola nga akulira ekitongole kino ekya Uganda National Metrological Authority Omonyi William, wakati munkuba etonya mu January eno mwebadde tesubirwa.

Bwabadde ayogerako ne banamawulire , Omonyi  agambye nti mukaseera kano enkuba etonya okumpi n’enyanja Nalubaale tegenda kuwangaala, kale nga yenna agyesigulirako naasiga emere empangaazi wakugwa mu mitawaana

Ono agambye nti enkuba eyogerwako eri wano okumpi ne Nyanja Nalubaale okuva e Nakasongola okutuuka e Hoima, kyoka nga ebitundu bye gwanga ebirara biri mu musana ogutagambika