Amawulire

Abalamuzi tebamala

Ali Mivule

April 8th, 2014

No comments

Judges

Ekitongole ekiramuzi kikyatoba n’entuumu y’emisango ng’obuzibu buvudde ku bakozi batono okwetoloola disitulikiti zonna

Omuwandiisi omukulu ow’ekitongole ekiramuzi, Paul Gadenya ategeezezza ababaka ba palamenti nti abalamuzi batono nnyo mu kooti za wansi kale nga kibakalubirira okukola ku misango mu budde

Gadenya agambye nti mu ggwanga lyonna mulimu abalamuzi abakulu aba kkooti ento bali 50 bokka nga bano beebakola ku misango gyonna mu ggwanga.

Gadenya agamba nti kino nga tekinogeddwa ddagala, abantu bakusigala nga beemulugunya ku misango egirwaawo okuwulirwa naye nga nabo tebalina nnyo kyakukola