Amawulire

Abalamuzi balaalise okwediima

Ali Mivule

July 3rd, 2017

No comments

Bya Anthony Wesaka

Essiga eddamuzi lyeyongeddemu ebizibu oluvanyuma lw’abalamuzi ba kkooti ento okutiisatiisa okwediima nga ne bannamateeka ba gavumenti kyebajje balaalike ku nsonga yeemu.

Mu kiwandiiko kyebaawerezza gavumenti, abalamuzi bano bagamba  nti gavumenti baagitegezezza dda ku kigendererwa kyabwe okugyako nga embeera gyebakoleramu erongoseddwamu.

Nga 30 June abalamuzi bano wansi w’ekibiina ekibataba baasisinkanamu ssabalamuzi w’eggwanga mu ofiisi ye wano mu Kampala nebamukwasa ekiwandiiko omuli okwemulugunya kwabwe.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *