Amawulire

Abalamazi balojja eby’amagero ebiri mu mazzi g’e Namugongo

Abalamazi balojja eby’amagero ebiri mu mazzi g’e Namugongo

Ivan Ssenabulya

June 2nd, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Buli mwaka ng’ennaku z’omwezi 3rd omwezi ogwa ssebo aseka abakkiririza okuva ebule ne bweya beyiwa ku kiggwa kya bajjulizi okujukira abajjulizi ba Uganda abatukirivu abaafiiririra eddiini, bano tebeerabira kwetika bidomola mwe basenera amazzi ag’omukisa.

Abalamazi ab’omwaka guno nga bataka ku kiggwa kya bajjulizi e Namugongo batubulidde nti bakkiriza nti amazzi gano gaakulukutiramu omusaayi gw’abajjulizi abattibwa ku kiggwa kino era gakola ebyewunyo ntoko eri abagakozesa.

Bano betusanze ku luzzi luno nga balwanira amazzi batutegezeza nti tebasobola kusubwa mukisa gwa kwetwalira ku mazzi gano kubnga buli kizibu kyoba nakyo kasita ogakozesa n’okukkiriza kivaawo.

Ebimu ku byamagero okuva mu mazzi gano, abalamazi batutegezeza nti bwoganywa ofuna obuwangazi, galwanyisa emyoyo emibi, abagumba bazaala, n’okulwana entalo ezabuli kika.