Amawulire

Abakyala mu butayimbwa

Ali Mivule

February 11th, 2013

No comments

iron bar criminalsAbazigu ababbisa obutayimbwa bakyusizza mu nkola nga kati bakozesa bakyala.

Omusajja eyapangisiddwa omukyala okumutwaala e kasubi Nabulagala akyalojja kyeyayiseemu omukyala bweyamwefuulidde.

 John Ssali ow’emyaka 27 yeeyakubiddwa omukyala obwedda amweyogerezaako ng’amubuuza engeri gyeyetasaamu abobutayimbwa.

 Yamukyukidde omulundi gumu n’amukuba akatayimbwa era n’akuliita ne pikipiki ye gy’abadde yakagula mu mwezi gumu gwokka.