Amawulire

Abakyala bémbutto bakubirizidwa okugenda okunywa eddagala nga bukyali

Abakyala bémbutto bakubirizidwa okugenda okunywa eddagala nga bukyali

Ivan Ssenabulya

September 9th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ngá Uganda yetegeka okwegatta kunsi yonna okukuza olunaku lwebyobulamu ebirungi olumanyiddwa nga International Health Safety Day, minisitule eyébyobulamu ekubiriza bamaama abali embutto okwetanira okugenda okunywa eddagala ngobudde bukyali kisobozese okukendeza ku muwendo gwa baana abazaalibwa nga tebanetuuka.

Mu kwogerako ne bannamawulire mu Kampala, Dr Elizabeth Namagara, kamisona avunanyizibwa ku byomutindo gwe byobulamu mu minisitule eno agambye nti maama nomwana okusimatuka olutalo lwokuzaala obulungi kiva kundabirira gyaba yafuna nga ali lubuto okuyita mu kumwekebejja nokunywa eddagala.

Ono agambye nti ku baana ebitundu 30% abafa nga tebanaweza emyaka 5 baba abo abazaalibwa nga tebanaba kwetuuka.

Ono mungeri yemu akubiriza bamaama abembutto okuzaaliranga mu malwaliro okwewala ebizibu bye bayinza okufuna nga bazaala

Olunaku lwa Health Safety Day lwakukuzibwa ku lwokutaano lwa wiiki ejja ngessira litereddwa ku bamaama abali embutto na baana bebazaala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *