Amawulire
Abakyala balabuddwa ku mata g’obuwunga
Bya Prossy Kisakye, Minisitule ye by’obulamu evudeyo nerabula abakyala okukomya okuwa abaana baabwe abawere amata g’obuwunga.
Okusinzira ku minisita omubeezi ow’eby’obulamu ebisookerwako Dr. Moriku Joyce Kaducu amata gano tegalimu kiriisa kyonna eri omwana akula bw’ogerageranya n’amabeere ga bamaama
Ono okwogera bino nga n’eggwanga liri mu kukuza ssabiiti ya bamaama ey’okuyonsa.
Minisita agamba nti abaana abaweebwa amata g’obuwunga batawanyizibwa nyo endwadde olw’obutaba nakiriisa