Amawulire

Abakwatibwa ekirwadde kya Covid bongedde okukendeera

Abakwatibwa ekirwadde kya Covid bongedde okukendeera

Ivan Ssenabulya

May 10th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Emiwendo gyabalwadde ba ssenyiga omukambwe mu Uganda gikyali wansi era bwegityo bwegibadde okumala wiiki 5 m kubala okwawamu mu abalwadde 53, wiiki eyaddako 66, 18, 15 ne 34.

Bino byebibalo ebivudde mu kitongole ekivunayizibwa ku kutegekera egwanga ekya National Planning Authority.

Mu kiwandiiko ekivudde mu kitongole, ssenkulu w’ekitongole kino Dr Joseph Muvawala agambye nti baafunye abalwadde abappya 5 mu wiiki eyaweddeko nga 7 May.

Agambye nti emiwendo gigenda kusigala wansi wewaawo wajja kuberawo kko, okweyongera okutonotono mu wiiki bbiri ezijja.

Mu Africa bagambye nti wabaddewo okweyongera kwobulwadde mu mawanga agamu okuli South Africa, Burundi, Tunisia ne Zambia.