Amawulire

Abakungu ba Gavt 4 bagibwako emisango gyóbulyake

Abakungu ba Gavt 4 bagibwako emisango gyóbulyake

Ivan Ssenabulya

August 20th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Ssabawaabi wa gavumenti omulamuzi Jane Frances Abodo aliko abakungu 4 okuva mu yafeesi ya ssabaminisita bajeeko emisango, ababadde bavunanibwa obulyake, bwebadumuula emiwendo gyokugula emmere eri abawejjere mu muggwalo gwa senyiga omukambwe ogwasooka mu 2020.

Abayimbuddwa kuliko eyali omuwandiisi ow’enkalakkalira Christine Guwatudde Kintu, eyali akulira ebyokugula n’okutunda ebintu, Fred Lutimba Kyeyune, omuwandiisi Joel Wanjala ne Martin Owor kamisona w’ebibamba.

Kinajjukirwa nti mu August wa 2020 Ssabawaabi wa gavumenti, yalagira okuvunaanwa kw’abantu bano, obufere n’emisango gyenguzi.

Kati mu bbaluwa ewereddwa omulamuzi Margaret Tibulya, okuva ewa DPP tewali nsonga eweereddwa lwaki bano babajeeko emisango.

Bano kigambibwa nti badumuula emiwendo gyemmere, nekigendererwa ekyokubba ssente, n’okufiiriza gavumenti obuwumbi 32 n’obukadde 300.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *