Amawulire

Abakulembeze e kawempe badukidde wa Loodi Meeya

Abakulembeze e kawempe badukidde wa Loodi Meeya

Ivan Ssenabulya

June 5th, 2019

No comments

Bya prossy Kisakye, Bakansala ku lukiiko lweggombolola y’e Kawempe, nga bakulembeddwamu mayor Emmanuel Sserunjogi bekubidde enduulu ewa Lord mayor wa Kampala, kunsonga ez’enjawulo, ze bagamba nti zizingamizza enkulakulana mu kitundu kyabwe.

Bwabadde ayogera ne banamawulire Sserunjogi asabye loodimeeya Erias lukwago okunonyereza ku nsonga zaabwe.

Ebimu kw’ebyo byebanokodeyo mulimu engereka y’omusolo gw’amayumba etali ya bwenkanya, abakozi mu kcca abatali batendeka kimala, bagala kcca esooke esomesa abatuuze ku bikwata ku musolo gw’amayumba.

Ebiralala olukiiko era lw’emulugunya kungeri, abakola ebikwekweto mu kcca gyebakwatamu abantu

mungeri yemu meeya w’e kawempe ayagala kcca ewereze ebitundu 35% ebirina okuyamba ku bakulembeze b’ebitundu mu nzirukanya yemirimu.